Numbers 13:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Kalebu n'akkakkanya abantu abaali beetoolodde Musa, n'abagamba nti: “Twambuke, tulye ensi, kubanga mu mazima tusobola okukikola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kalebu n’asirisa abantu awali Musa n’agamba nti, “Twambukirewo kaakano tutwale ensi eyo, kubanga ndaba nga tusobola okugiwangula.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kalebu n'asirisa abantu mu maaso ga Musa, n'agamba nti, “Twambuke mangu ago, tugirye; kubanga tuyinziza ddala okugiwangula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kalebu n'asirisa abantu abaali bakuŋŋaanidde awali Musa, n'agamba nti: “Twambuke awatali kulwa tuwambe ensi eyo, kubanga tusobolera ddala okugiwangula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kalebu n'asirisa abantu mu maaso ga Musa, n'agamba nti Twambuke mangu ago, tugirye; kubanga tuyinziza ddala okugiwangula.