Numbers 13:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abalala be yagenda nabo ne bagaana nti: “Tetusobola kulumba bantu bano, kubanga ba maanyi okutusinga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka abaagenda ne Kalebu okuketta ne baddamu nti, “Abantu bali tetubasobola, batusinga amaanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abantu abaayambukira awamu naye ne bagamba nti, “Tetuyinza kwaŋŋaanga bantu abo kubanga batusinza nnyo amaanyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka abantu abaagendayo naye ne bagamba nti: “Tetuyinza kwaŋŋanga kulwanyisa bantu bali, kubanga batusinga nnyo amaanyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abantu abaayambukira awamu naye ne bagamba nti Tetuyinza kwambuka ku bantu abo; kubanga batukiza amaanyi.