Numbers 13:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bayogera bubi eri abantu ku nsi gye baali bakesse nga bagamba Abayisirayeli nti: “Ensi gye twaketta ebwebwena abagirimu; abantu be twalabayo ba kiwago;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo ne babunya mu baana ba Isirayiri alipoota etaali nnungi ng’efa ku nsi gye baali bagenze okuketta; nga bagamba nti, “Ensi gye twayitaayitamu nga tugiketta tesobola na kuliisa bantu baayo abagituulamu; ate n’abantu bonna be twalabamu baali ba kiwago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne basaasaanya mu Baana ba Isiraeri amawulire amabi ag'obulimba agafa ku nsi gye baali bakesse, ne bagamba nti, “ Ensi gye twagenda okuketta, nsi nkalu, etebaza mmere eyinza okumala abantu abagituulamu, n'abantu bonna be twalabayo baali bawagguufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne basaasaanya mu Bayisirayeli ebigambo ebibi eby'obulimba ebifa ku nsi gye baali bakesse, ne bagamba nti: “Ensi gye twayitamu nga tugiketta, nsi nkalu, etebaza mmere emala okusobola okubeezaawo abantu abagibeeramu, n'abantu bonna be twalabayo, bantu bawanvu nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baleeta ebigambo ebibi eby'ensi gye baali bakesse eri abaana ba Isiraeri nga boogera nti Ensi gye twayitamu okugiketta, nsi eriira ddala abagituulamu; n'abantu bonna be twalaba omwo basajja bawanvu nnyo.