Numbers 13:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
twalabayo n'Abanefili, bazzukulu ba Anaki, ab'olulyo lw'abawagguufu; ffe tweraba ng'enzige obuzige, era nabo bwe batyo bwe twabalabikira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Twalabayo n’Abanefisi, abazzukulu ba Anaki abava mu Banefiri. Bwe twetunulako nga tuli ng’obwacaaka, era nabo nga bwe batulaba bwe batyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era twalabayo Abanefiri, bazzukulu ba Anaki. Tweraba nga tuli basirikitu ng'obwacaaka, era nabo bwe batyo bwe baatulaba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era twalabayo abantu abawagguufu, Abaanaki abasibuka mu Banefiri. Tweraba nga tuli basirikitu nga nseenene, era nabo bwe batyo bwe baatulaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era twalabayo Banefiri, abaana ba Anaki, abaava ku Banefiri: naffe ne tuba mu maaso gaffe ng'obwacaaka, era bwe twali mu maaso gaabwe.