Numbers 14:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ekibiina ne kyogera ku ky'okubakuba amayinja. Awo ekitiibwa ky'Omukama ne kirabika ku Weema ey'Ensisinkano mu maaso g'Abayisirayeli bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abantu bonna mu kibiina ne bateesa okubakuba mayinja. Awo ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira eri abaana ba Isirayiri bonna mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekibiina kyonna ne kyagala okubakuba amayinja. Ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu Weema ey'okusisinkanirangamu eri abaana ba Isiraeri bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibiina kyonna ne kigamba okubakuba amayinja. Naye mu kaseera ako, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira Abayisirayeli bonna ku Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekibiina kyonna ne balagira okubakuba amayinja. Ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu weema ey'okusisinkanirangamu eri abaana ba Isiraeri bonna.