Numbers 14:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Abantu bano banaatuusa wa okunnyooma? Banaatuusa wa obutanzikiriza nga mmaze n'okukola obubonero obwo bwonna bwe nakola mu maaso gaabwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Musa nti, “Abantu bano balinnyooma kutuusa ddi? Balikomya ddi obutanzikiririzaamu, newaakubadde nga nakola ebyamagero mu bubonero bwe nakolera mu bo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Abantu bano balituusa wa okunnyooma? Era balituusa wa obutanzikiriza olw'eby'amagero byonna bye nnakolera mu bo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Abantu bano balituusa wa okunnyooma? Era balituusa wa obutanneesiga, wadde nga nkoze ebyewuunyo ebyo byonna mu bo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Abantu bano balituusa wa okunnyooma? era balituusa wa obutanzikiriza olw'obubonero bwonna bwe nnakolera mu bo?