Numbers 14:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ka mbasindikire kawumpuli, mbamalewo; ggwe gwe nzija okukolamu eggwanga eddene ery'amaanyi n'okusinga lino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nzija kubaboola mbazikirize ne kawumpuli, mbasaanyeewo; naye nzija kukuggyamu ggwe eggwanga eriribasinga abo obukulu n’amaanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nja kubakuba ne kawumpuli, mbaggyeeko n'obusika bwabwe, naye ggwe nkuggyemu eggwanga eribasinga bo obunene n'amaanyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kubasindikamu kawumpuli mbazikirize, nsibuse mu ggwe eggwanga eddene era ery'amaanyi okusinga bo bwe bali.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abakuba ne kawumpuli, ne mbaggyako obusika bwabwe, ne nkuggyamu eggwanga eribasinga bo obunene n'amaanyi.