Numbers 14:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba Omukama nti: “Abamisiri, be waggya abantu bano mu makkati gaabwe n'amaanyi go, bajja kuwulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Musa n’agamba Mukama Katonda nti, “Ebyo Abamisiri bagenda kubiwulira! Kubanga abantu bano wabaggya mu nsi y’Abamisiri n’obuyinza obw’amaanyi amangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Musa n'agamba Mukama nti, “ Ggwe waggya abantu bano e Misiri, ng'okozesa obuyinza bwo. Abamisiri bwe baliwulira ky'okoze abantu bo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Musa n'agamba Mukama nti: “Ggwe waggya abantu bano e Misiri, ng'okozesa obuyinza bwo. Abamisiri bwe baliwulira ky'okoze abantu bo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba Mukama nti Kale Abamisiri balikiwulira; kubanga waggya abantu bano mu bo n'amaanyi go n'obalinnyisa;