Numbers 14:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Omukama tasunguwala mangu, ajjudde ekisa, asonyiwa ekyonoono n'obujeemu, naye taleka kibi nga tekibonerezeddwa; abonereza abaana olw'ekibi ky'abazadde baabwe mu bazzukulu okutuusa ku zzadde eryokusatu n'eryokuna.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘ Mukama Katonda alwawo okusunguwala, era ajjudde okwagala okutaggwaawo, era asonyiwa ekibi n’obujeemu. Naye era asingiddwa omusango tamuleka nga tabonerezebbwa; abonereza abaana olw’ebibi bya bakadde baabwe okutuuka ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
‘Nze Mukama, ndwawo okusunguwala, nnina okwagala kungi, nsonyiwa ebibi n'obujeemu, naye sirema kubonereza muntu olw'omusango gw'azzizza. Era mbonereza abaana n'abazzukulu, okutuusa ku mulembe ogwokusatu n'ogwokuna olw'ebibi bya bajjajjaabwe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Nze Mukama, ndwawo okusunguwala, nnina okwagala kungi, nsonyiwa ebibi n'obujeemu, naye sirema kubonereza muntu olw'omusango gw'azzizza. Era mbonereza abaana n'abazzukulu, okutuusa ku zzadde eryokusatu n'eryokuna olw'ebibi by'abazadde baabwe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nti Mukama alwawo okusunguwala, era ow'okusaasira kungi, asonyiwa obutali butuukirivu n'okusobya, era atalimuggyako musango n'akatono aguliko; awalana obutali butuukirivu bwa bajjajja baabwe ku baana, ku mirembe egy'okusatu n'egy'okuna.