Numbers 14:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkwegayiridde, sonyiwa ekibi ky'abantu bano ng'osinziira ku bukulu bw'ekisa kyo, nga bw'ozze obasaasira okuva lwe baava mu Misiri n'okutuusa kati.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’okwagala kwe okungi okutaggwaawo bwe kuli, nsaba osonyiwe abantu bano ekibi ky’abwe, nga bw’ozze obasonyiwa kasookedde bava mu Misiri n’okutuusa leero.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkwegayiridde sonyiwa, obutali butuukirivu bw'abantu bano ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, era nga bwe wasonyiwanga abantu bano okuva mu Misiri okutuusa leero.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkwegayiridde sonyiwa ebibi by'abantu bano olw'okusaasira kwo okungi, era nga bw'obadde obasonyiwa okuva lwe baava mu Misiri n'okutuusa kaakano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nkwegayiridde, sonyiwa, obutali butuukirivu bw'abantu bano ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, era nga bwe wasonyiwanga abantu bano okuva mu Misiri na guno gujwa.