Numbers 14:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli bonna ne beemulugunyiza Musa ne Aroni nga bagamba nti: “Singa nno twafiira mu Misiri oba mu ddungu lino!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni; abantu bonna awamu mu kibiina ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi y’e Misiri! Oba singa twafiira mu ddungu muno!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibiina kyonna ekya baana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni, ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi y'e Misiri, oba singa twafiira mu ddungu muno!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne beemulugunyiza Musa ne Arooni, ekibiina kyonna ne kigamba nti: “Singa nno twafiira mu nsi y'e Misiri, oba waakiri mu ddungu muno!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni: ekibiina kyonna ne babagamba nti Singa twafiira mu nsi y'e Misiri! oba singa twafiira mu ddungu muno!