Numbers 14:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abantu bonna abaalaba ekitiibwa kyange n'obubonero bwe nakola mu Misiri ne mu ddungu, ne batawulira ddoboozi lyange, naye ne bangeza, emirundi kati kkumi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tewalibaawo n’omu ku bantu abaalaba ekitiibwa kyange n’obubonero obw’ebyamagero bwe nakolera e Misiri ne mu ddungu, naye ne batagondera ddoboozi lyange wabula ne bangezesa nga bankema emirundi kkumi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abasajja bano bonna abaalaba ekitiibwa kyange n'eby'amagero byange bye nnakolera e Misiri ne mu ddungu, naye ne banjeemera emirundi gino ekkumi (10), ne batawulira ddoboozi lyange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale ku bantu abo abaalaba ekitiibwa kyange n'ebyewuunyo bye nakolera mu Misiri ne mu ddungu, naye ne bantawaanya emirundi n'emirundi, era ne banjeemera,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga abasajja abo bonna abaalaba ekitiibwa kyange n'obubonero bwange bwe nnakolera mu Misiri ne mu ddungu, naye ne bankema emirundi gino ekkumi, ne batawulira ddoboozi lyange;