Numbers 14:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
teri n'omu agenda kulaba nsi gye nalayirira bajjajjaabwe; ku abo abannyoomye, mpaawo n'omu aligitunulako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tewalibaawo n’omu ku bo aliraba ku nsi eyo gye nalayirira bajjajjaabwe ne mbasuubiza okugibawa. Tewalibaawo n’omu ku bo abannyoomye aligirabako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mazima tewaliba n'omu ku abo abannyooma, aliraba ensi gye nnalayirira bajjajjaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mazima tewaliba n'omu ku bo, abo abannyooma, aliraba nsi gye nalayirira bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mazima tebaliraba nsi gye nnalayirira bajjajja baabwe, so tewaliba ku abo abannyooma n'omu aligiraba: