Numbers 14:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kubanga omuweereza wange Kalebu, endowooza ye ndala, ampeereza n'omutima gwe gwonna, nzija kumutuusa mu nsi eyo gye yalambula, n'ezzadde lye ligenda kugisikira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olwokubanga omuweereza wange Kalebu alina omwoyo ogw’enjawulo era ng’angoberera n’omutima gwe gwonna, ndimuleeta mu nsi gye yatumibwamu, n’ezzadde lye lirigirya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omuddu wange Kalebu, kubanga ye alina omwoyo omulala mu ye, era ye angobererera ddala, oyo ndimutuusa mu nsi gye yagendamu okuketta; n'ezzadde lye lirigirya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka omuweereza wange Kalebu, kubanga ye endowooza ye ya njawulo, era annywereddeko n'omutima gwe gwonna, ndimutuusa mu nsi gye yalambula, era ezzadde lye lirigiweebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye omuddu wange, Kalebu, kubanga ye alina omwoyo omulala mu ye, era ye angobererera ddala, oyo ndimuleeta mu nsi gye yagendamu; n'ezzadde lye lirigirya.