Numbers 14:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ekibiina kino ekibi kinaatuusa wa okunneemulugunyiza? Mpulidde okwemulugunya kw'Abayisirayeli nga banneemulugunyiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ekibiina kino ekibi kirituusa ddi nga kinneemulugunyiza? Mpulidde okutolotooma kw’abaana ba Isirayiri nga banneemulugunyiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ndituusa wa okugumiikiriza ekibiina kino ekibi, abanneemulugunyiza? Mpulidde okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri kwe banneemulugunyiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekibiina kino eky'abantu ababi kirituusa wa okunneemulugunyiza? Nkooye okuwulira okwemulugunya kw'Abayisirayeli kwe banneemulugunyiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndituusa wa okugumiikiriza ekibiina kino ekibi, abanneemulugunyiza? Mpulidde okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri kwe banneemulugunyiza.