Numbers 14:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno bagambe nti: ‘Nze nga ndi mulamu, Omukama y'agamba, bye nnyini bye mpulidde nga mwogera, nange bye nzija kubakola:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bategeeze nti, ‘ Mukama agambye nti, Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, ebyo bye mpulidde nga mwogera, nange bye ndibakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bagambe nti, Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, mazima nga bwe mwogedde, mpulidde, era bwe ntyo bwe nnaabakola:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mubagambe nti: ‘Nze Mukama ndayira nti nga bwe Ndi omulamu, nja kubakolako nga bwe mpulidde ebyo mmwe mwennyini bye mwogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bagambe nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, mazima nga bwe mwogedde mu matu gange, bwe ntyo bwe nnaabakolanga: