Numbers 14:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki Omukama yatuleeta mu nsi eno tufe ekitala, bakazi baffe n'abaana batwalibwe ng'omunyago? Okuddayo mu Misiri tekisingako?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki Mukama atutwala mu nsi eyo, tutuuke eyo tulyoke tuttibwe n’ekitala? Abakazi baffe n’abaana baffe bagenda kunyagibwa. Okuddayo mu Misiri si kye kinaasingako?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama atuleetera ki mu nsi muno, okugwa n'ekitala? Bakazi baffe n'abaana baffe abato baliba munyago; si kye kisinga obulungi gyetuli okuddayo mu Misiri?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwaki Mukama atuleeta mu nsi eno? Tujja kuttirwa mu lutalo, bakazi baffe n'abaana baffe abato banyagibwe. Tekyanditusingiddeko obulungi okuddayo e Misiri?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama atuleetera ki mu nsi muno, okugwa n'ekitala? Bakazi baffe n'abaana baffe abato baliba munyago: si kye kisinga obulungi gye tuli okuddayo mu Misiri?