Numbers 14:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mpaawo n'omu aliyingira mu nsi gye narayira okugibafuulira awaka wammwe, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefunne ne Yoswa mutabani wa Nuunu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewaliba n’omu ku bo aliyingira mu nsi gye neelayirira nti ge galibeera amaka gammwe, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mazima temulituuka mu nsi, gye nnabalayirira okubatuuzamu, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mazima tebalituuka mu nsi gye nneerayirira okubawa okubeerangamu, wabula Kalebu mutabani wa Yefunne, ne Yoswa mutabani wa Nuuni, be bokka abaligituukamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mazima temulituuka mu nsi, gye nnayimusiriza omukono gwange okubatuuza omwo, wabula Kalebu mutabani wa Yefune, ye Yoswa mutabani wa Nuuni.