Numbers 14:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaana bammwe be mwagambye nti baliwambibwa ng'omunyago, bo nno be ndiyingiza ne basanyukira mu nsi mmwe gye mwemansudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abaana bammwe abato, be mwogeddeko nti balifuulibwa omunyago, ndibayingiza mu nsi eyo gye mugaanye ne beeyagalira omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abaana bammwe abato, be mugambye okuba omunyago, abo bo ndibayingiza, mu nsi gye mugaanyi, ne batuula omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abaana bammwe abato be mugambye nti bajja kunyagibwa, be ndiyingiza mu nsi eyo mmwe gye munyoomye, era be baligyeyagaliramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abaana bammwe abato, be mugambye okuba omunyago, abo ndibayingiza, nabo balimanya ensi gye mugaanyi.