Numbers 14:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani bammwe bajja kubeera balunzi mu ddungu ebbanga lya myaka amakumi ana, nga babonaabona olw'obwamalaaya bwammwe, okutuusa ku mulambo gwammwe ogulisembayo okugwa mu ddungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe olw’obutabeera beesigwa, abaana bammwe balimala emyaka amakumi ana mu ddungu nga bwe balunda ebisibo byabwe okutuusa omulambo gw’oyo alisembayo okufa lwe guliziikibwa mu ddungu muno.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaana bammwe balibungeetera mu ddungu emyaka ana (40), nga babonaabona olw'obutali bwesigwa bwammwe, okutuusa lwe mulifiira mu ddungu ne muggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana bammwe balibungeetera mu ddungu emyaka amakumi ana, nga babonaabona olw'obutali bwesigwa bwammwe, okutuusa lwe mulifiira mu ddungu ne muggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana bammwe banaabanga batambuze mu ddungu okumala emyaka ana, era banaabangako obwenzi bwammwe, okutuusa emirambo gyammwe lwe girizikiririra mu ddungu.