Numbers 14:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emyaka amakumi ana gye mujja okumala nga mubonerezebwa olw'ebibi byammwe, nga buli lunaku ku nnaku ana ezaamalwa mu kuketta ensi lusasulibwa mwaka, bwe mutyo lwe mulimanya okumpakanya kiki kye kutegeeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe mwamala ennaku amakumi ana nga muketta ensi eri, bwe mutyo bwe mujja okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, nga buli lumu ku nnaku ezo muvaamu mwaka gumu gumu; muboneebone olw’ebibi byammwe, mulyoke mutegeere obuzibu obw’okunneesimbamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'omuwendo gw'ennaku bwe gwali ze mwaketteramu ensi, ze nnaku ana (40), buli lunaku ndufudde mwaka, bwe munaabangako bwe mutyo obutali butuukirivu bwammwe, okumala myaka ana (40), era mulijjukira bye n'abagamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulibonaabona okumala emyaka amakumi ana olw'ebibi byammwe. Buli lunaku ku nnaku amakumi ana ze mwamala nga muketta ensi eyo, mulirusasulamu omwaka mulamba, mulyoke mutegeere nga nabaabulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'omuwendo gw'ennaku bwe gwali ze mwaketteramu ensi, ze nnaku ana, buli lunaku mwaka, bwe munaabangako bwe mutyo obutali butuukirivu bwammwe, gye myaka ana, era munaamanyanga bwe nnabaabulira.