Numbers 14:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze Omukama, nze njogedde, bwe ntyo bwe nzija kukola ekibiina kino ekyonoonyi ekinneekobedde. Bajja kuggweerera mu ddungu lino; wano we balifiira.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze, Mukama Katonda, nkyogedde; ddala ddala ekyo ndikikola ku kibiina kyonna eky’abantu bano aboonoonyi abeegasse awamu okunjolekera. Tebagenda kuva mu ddungu lino, bonna mwe balifiira.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze Mukama njogedde, mazima ndikola bwentyo ekibiina kino kyonna ekibi, ekinkuŋŋaaniddeko okunjeemera. Mu ddungu muno mwe balizikiririra, era mwe balifiira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama njogedde. Mazima ekyo nja kukikola ku b'Eggwanga lino lyonna ebbi, abakuŋŋaanye okumpakanya. Mu ddungu lino tebalivaamu. Bonna mwe balifiira.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze Mukama njogedde, mazima ndikola kino ekibiina kino kyonna ekibi, abankuŋŋaaniddeko: mu ddungu muno mwe balizikiririra, era mwe balifiira.