Numbers 14:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe batyo abasajja Musa be yali atumye okuketta ensi, abadda ate ne baleetera ekibiina kyonna okumwemulugunyiza, nga boogera bubi ku nsi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja abo Musa be yatuma okuketta ensi ne bakomawo ne beemulugunyiza ekibiina ky’abantu bonna nga babaleetedde obubaka obutaali bulungi ku nsi eri, era ne babubunyisa mu bantu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu Musa be yatuma okuketta ensi eyo abaakomawo ne bagyogerako ebigambo ebibi eby'obulimba ebyaleetera ekibiina kyonna okwemulugunyiza Mukama,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu Musa be yatuma okuketta ensi eyo abaakomawo ne bagyogerako ebigambo ebibi eby'obulimba ebyaleetera ekibiina kyonna okwemulugunyiza Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abantu Musa be yatuma okuketta ensi, abaakomawo ne bamwemulugunyizisa ekibiina kyonna, nga baleeta ebigambo ebibi ku nsi,