Numbers 14:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera ku makya ne basituka, ne bagenda mu nsozi nga bwe bagamba nti: “Twonoonye. Twetegese okwambuka tulage eri ekifo Omukama kye yayogerako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkeera mu makya ne bambuka mu nsi ey’ensozi. Ne boogera nti, “Twayonoona, naye nga bwe tuli wano tujja kwambuka tuyingire mu nsi Mukama Katonda gye yatusuubiza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagolokoka enkya ku makya, ne bagenda ku ntikko y'olusozi nga boogera nti, “Laba, tutuuno, era tunaayambuka mu kifo Mukama kye yasuubiza; kubanga twayonoona.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera, ne bazuukuka ku makya, ne bagenda okulumba ensi ey'ensozi, nga bagamba nti: “Laba tuutuno twetegese okwambuka okugenda mu kifo Mukama kye yasuubiza. Tutegedde nga twakoze kibi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagolokoka enkya mu makya, ne beegendera ku ntikko y'olusozi nga boogera nti Laba, tutuuno, era tunaayambuka mu kifo Mukama kye yasubiza: kubanga twayonoona.