Numbers 14:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Abaamaleki n'Abakanaani abali eyo bajja kubasisinkana; kubanga mugaanyi okugondera Omukama, Omukama tajja kubeera nammwe, mujja kufa ekitala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Abamaleki n’Abakanani bajja kuboolekera. Olwokubanga mwekyusizza ne muva ku Mukama Katonda, tajja kubeera nammwe, ekitala kijja kubatta.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga Omwamaleki n'Omukanani bali mu maaso gammwe, era munaagwa n'ekitala: kubanga mwajeema; Mukama kyanaava alema okubeera nammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe munaasisinkanirayo n'Abamaleki era n'Abakanaani, mujja kuttirwa mu lutalo. Mukama tajja kuba wamu nammwe, kubanga mwamweggyako, ne mugaana okumugoberera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga eyo Omwamaleki n'Omukanani bali mu maaso gammwe, era munaagwa n'ekitala: kubanga mwadda ennyuma obutagoberera Mukama, Mukama kyanaava alema okubeera nammwe.