Numbers 14:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bo mu kwebambalika kwabwe, ne bambuka mu nsozi; yo Ssanduuku y'Endagaano yasigala mu lusiisira, ne Musa teyaseguka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye era bo ne beesigula ne bambuka mu nsi ey’ensozi, newaakubadde nga Musa teyagenda nabo era nga n’essanduuko ey’endagaano yasigala mu lusiisira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne beeyinula okulinnya ku ntikko y'olusozi; naye essanduuko ey'endagaano ya Mukama teyava mu lusiisira, wadde Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bo ne beerema, ne bambuka mu nsi ey'ensozi, newaakubadde ng'Essanduuko y'Endagaano ya Mukama, wadde Musa, teyava mu lusiisira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne beeyinula okulinnya ku ntikko y'olusozi: naye ssanduuko ey'endagaano ya Mukama ne Musa tebaava mu lusiisira.