Numbers 14:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa ne Aroni bwe baawulira ekyo, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe mu maaso g'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa ne Alooni ne bavuunama wansi mu maaso g’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abaali bakuŋŋaanidde awo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa ne Alooni ne bavuunamira ddala ku ttaka mu maaso g'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa ne Arooni ne bavuunamira ddala ku ttaka, mu maaso g'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa ne Alooni ne bavuunama amaso gaabwe mu maaso g'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri.