Numbers 14:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye Yoswa, mutabani wa Nuunu ne Kalebu mutabani wa Yefunne, ababiri mu abo abaali bakesse ensi, ne bayuza ebyambalo byabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali mu abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuzaayuza engoye zaabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali ku muwendo gw'abo abaaketta ensi, ne bayuza engoye zaabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa mutabani wa Nuuni, ne Kalebu mutabani wa Yefunne, abaali mu abo abaaketta ensi eyo, ne bayuza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala, ne beecwacwana,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali ku muwendo gw'abo abaaketta ensi, ne bayuza engoye zaabwe: