Numbers 14:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bagamba Abayisirayeli bonna abaali bakuŋŋaanye nti: “Ensi gye twetooloola ne tugyekkaanya, nnungi nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bagamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Ensi gye twayitaayitamu okugiketta, nsi nnungi nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne babuulira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nga boogera nti, “Ensi gye twayitamu okugiketta nsi nnungi nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bategeeza ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli nti: “Ensi gye twayitamu ne tugiketta, nsi mpitirivu obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne babuulira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nga boogera nti Ensi gye twayitamu okugiketta nsi nnungi nnyo.