Numbers 14:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama bw'anaaba atusaasidde, ajja kutuyingiza mu nsi eyo, ajja kugituwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda bw’aliba atusanyukidde, alitukulembera n’atutuusa mu nsi eyo, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, era agenda kugituwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba nga Mukama atusiima alituyingiza mu nsi omwo, n'agituwa; ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba nga Mukama atusiima, ajja kutuyingiza mu nsi eyo engimu era engagga, agituwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama oba ng'atusanyukira, kale alituyingiza mu nsi omwo, n'agituwa; ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki.