Numbers 14:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye muleke kujeemera Mukama, era eky'okutya abantu b'omu nsi eyo mukiveeko kubanga tuyinza okubamira obugobo. Tebakyalina buyambi na bumu; Omukama ali naffe; muleke kubatya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka temujeemera Mukama Katonda, era n’abantu b’omu nsi omwo temubatya, kubanga kuliba kumenya mu jjenje kkalu; tebakyalina abakuuma, ate nga Mukama Katonda ali wamu naffe. Temubatya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka temujeemera Mukama, so temutya bantu ba mu nsi; kubanga kya kulya gyetuli. Mukama abavuddemu, ali wamu naffe, temubatya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekikulu, muleme kujeemera Mukama, wadde okutya abantu abali mu nsi eyo, kubanga kijja kutwanguyira okubawangula, nga bwe twanguyirwa okulya emmere. Bo ekibadde kibakuuma, kimaze okubaggyibwako, naye ffe Mukama ali wamu naffe. N'olwekyo temubatya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyokka temujeemera Mukama, so temutya bantu ba mu nsi; kubanga kya kulya gye tuli: ekisiikirize kyabwe kiggiddwa waggulu ku bo, era Mukama ali wamu naffe: temubatya.