Numbers 15:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oleeterangako n'evviini olw'ekitone eky'okuyiwa eweza ekyokubiri ekya yini, ebitone ebiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era munaaleetanga envinnyo eweza lita bbiri nga kye kiweebwayo ekyokunywa. Kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa mu muliro ne kivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era anaaleterangako ekiweebwayo eky'okunywa, ekitundu kya ini ey'envinnyo ey'akawoowo eri Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era munaawangayo n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa kya lita bbiri ez'omwenge ogw'emizabbibu. Akawoowo k'ekitambiro ekyo kansanyusa Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoowangayo okuba ekiweebwayo ekyokunywa kitundu kya ini ey'envinnyo, okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'akawoowo eri Mukama.