Numbers 15:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'otyo bw'okolanga ku buli nte ennume, n'endiga ennume, ku buliga ne ku mbuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli nte ennume oba endiga ennume, na buli mwana gwa ndiga oba embuzi ento, zonna zinaateekebwateekebwanga mu ngeri eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bwe kityo bwe kinaakolebwanga ku buli nte, oba ku buli ndiga ennume, oba ku buli mwana gw'endiga omulume, oba abaana b'embuzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ebyo bye binaaweebwangayo nga muwaayo buli nte ennume, oba buli ndiga ennume, oba buli ndiga ento, oba embuzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe kityo bwe kinaakolebwanga olwa buli nte, oba olwa buli ndiga ennume, oba olwa buli mwana gw'endiga omulume, oba abaana b'embuzi.