Numbers 15:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli muzaaliranwa yenna entereeza eyo gy'agobereranga ng'aweereza ekitambiro ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Buli nzaalwa yenna kimusaanira okugobereranga enkola eyo buli lw’anaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa ku muliro, ne kivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enzaalwa bonna banaakolanga ebyo bwe batyo, bwe banaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bannansi bonna banaakolanga ebyo bwe batyo, bwe banaabanga bawaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'akawoowo akansanyusa Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enzaalwa bonna banaakolanga ebyo bwe batyo, bwe banaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: