Numbers 15:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mazadde gammwe gonna, omugwira yenna, oba omulala yenna abeera mu mmwe, bw'aweerezanga ekitambiro ekiwonge n'omuliro, ng'akawoowo akasanyusa Omukama, akolanga mu ngeri ye emu nga mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mirembe gyammwe gyonna egirijja, omugwira oba omugenyi yenna anaabeeranga mu mmwe bw’anaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa ku muliro ekivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda, anaakoleranga ddala nga bwe mukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omugenyi bw'anaatuulanga nammwe, oba buli anaabanga mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna, era ng'ayagadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama; nga mmwe bwe mukola, naye bw'anaakolanga bw'atyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'omugwira abeera mu mmwe okumala akabanga oba ebbanga lyonna, bw'anaabanga ayagadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'akawoowo akansanyusa Nze Mukama, anaakoleranga ddala nga mmwe bwe mukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omugenyi bw'anaatuulanga nammwe, oba buli anaabanga mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna, era ng'ayagadde okuwaayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama; nga mmwe bwe mukola, naye bw'anaakolanga bw'atyo.