Numbers 15:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amateeka n'emikolo biriba bye bimu eri mmwe n'eri abagwira abasula mu mmwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amateeka n’ebiragiro bye munaakwatanga n’omugwira anaabeeranga mu mmwe by’anaakwatanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Etteeka n'obulombolombo binaabanga bye bimu gye muli n'eri omugenyi anaatuulanga mu mmwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amateeka n'obulombolombo binaabanga bye bimu ebibafuga mmwe, n'abagwira ababeera mu mmwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Etteeka limu n'obulombolombo bumu binaabanga gye muli n'eri omugenyi anaatuulanga nammwe.