Numbers 15:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mazadde gammwe gonna muweerezanga Omukama ekitone kino okuva ku butta obusooka okugoyebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku mmere eyo gye munaasookerangako okusa munaaleetangako ekiweebwayo ekyo eri Mukama Katonda okuyita mu mirembe gyammwe gyonna.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku kitole kyammwe ekisooka ekikandiddwa, kwe munaggyanga ekiweebwayo ekisitulibwa okuwa Mukama mu mirembe gyammwe gyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biseera byammwe byonna eby'omu maaso, ku ŋŋaano yammwe gye musooka okukanda, munaggyangako ekiweebwayo ekyenjawulo ne mukintonera, Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku mugoyo gwammwe ogw'olubereberye kwe munaggyanga okuwa Mukama ekiweebwayo ekisitulibwa mu mirembe gyammwe gyonna.