Numbers 15:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ku ebyo Omukama bye yalagira ng'ayita mu Musa, okuva ku lunaku Omukama lwe yasooka okulagira ne gye bulijja mu mazadde gammwe gonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
amateeka ago gonna Mukama Katonda ge yalagira Musa okugabatuusaako okuva ku lunaku Mukama lwe yagamuweerako n’okweyongerayo okuyita mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
byonna Mukama bye yabalagira ng'ayita mu Musa, okuva ku lunaku Mukama lwe yaweerako ebiragiro ebyo, ne mu mirembe gyammwe gyonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era oboolyawo gye bujja, munaayinzanga okulemwa okukola byonna, Nze Mukama bye nalagira nga mpita mu Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
byonna Mukama bye yabalagira n'omukono gwa Musa, okuva ku lunaku Mukama lwe yalagirirako, n'oluvannyuma lwonna mu mirembe gyammwe gyonna;