Numbers 15:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'oli ataniddwa butanwa, nga n'abantu tebakirabye, ekibiina kyonna kiweerezanga ente ennume ento olw'ekitambiro ekyokye, ng'akawoowo akasanyusa Omukama, awamu, ng'etteeka bwe ligamba, n'ekitone kyakyo eky'obuwunga n'eky'okuyiwa, era n'embuzi ennume olw'ekitambiro olw'ekibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne mugasobya mu butagenderera n’ekibiina kyonna mu butamanya, kale nno ekibiina kyonna kinaaleetanga ekiweebwayo eky’ente ya sseddume ento emu nga kye kiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi eri Mukama Katonda, nga kuliko n’ekiweebwayo ky’emmere y’empeke n’ekyokunywa ng’etteeka bwe liragira, n’ekiweebwayo eky’embuzi ennume emu olw’ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo olunaatuukanga, bwe munaabanga mukikoze nga temugenderedde, ekibiina nga tekimanyi, ekibiina kyonna kinaawangayo ente emu envubuka okuba ekiweebwayo ekyokebwa, olw'evvumbe eddungi eri Mukama, era munaaleeterangako n'ekiweebwayo eky'obutta, n'ekiweebwayo eky'okunywa ng'etteeka bwe liri, n'embuzi emu ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe munaabanga mukikoze nga temugenderedde, olw'okuba ng'ekibiina kibadde tekimanyi kiteekwa kukolebwa, ekibiina kyonna kinaawangayo ente ennume emu envubuka, n'eba ekiweebwayo ekyokebwa eky'akawoowo akansanyusa Nze Mukama, wamu n'ekiweebwayo kyakwo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako ng'etteeka bwe liragira, era n'embuzi emu ennume, ebe ekiweebwayo olw'ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo olunaatuukanga, bwe munaabanga mukikoze nga temumanyiridde, ekibiina nga tekimanyi, ekibiina kyonna banaawangayo ente emu envubuka okuba ekiweebwayo ekyokebwa, olw'evvumbe eddungi eri Mukama, wamu n'ekiweebwayo kyako eky'obutta n'ekiweebwayo kyako eky'okunywa, ng'etteeka bwe liri, n'embuzi emu ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi.