Numbers 15:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona anaddaabirizanga olw'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, olwo kiribasonyiyibwanga, kubanga baatanwa butanwa, ate nga kati bawongedde Omukama ekitambiro n'omuliro olw'ensobi zaabwe, ne baweereza n'ekitambiro olw'ekibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaatangiririranga ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna, era bwe batyo banaasonyiyibwanga; kubanga baasobya mu butagenderera, ate banaabanga baleese ekiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa ku muliro, era n’ekiweebwayo eri Mukama Katonda olw’ekibi olw’ekisobyo kyabwe ekitaali kigenderere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kabona anaatangiriranga ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, era banaasonyiyibwanga; kubanga basobezza nga tebagenderedde, era nga baleese ekiweebwayo kyabwe, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, ekiweebwayo kyabwe olw'ekibi mu maaso ga Mukama, olw'okusobya kwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaasabiranga ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ekisonyiwo, era banaasonyiyibwanga, kubanga ekisobyo ekyo tekyali kigenderere, era banaabanga bandeetedde Nze Mukama ekitone kyabwe eky'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo olw'ebibi olw'ekisobyo ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabona anaatangiriranga ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, era banaasonyiyibwanga; kubanga kubadde kusobya, era nga baleese ekitone kyabwe, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama, n'ekyabwe ekiweebwayo olw'ekibi mu maaso ga Mukama, olw'okusobya kwabwe: