Numbers 15:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli n'abagwira abali mu bo bagenda kusonyiyibwa, kubanga omusango gukwata bantu bonna olw'obutanwa bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina ky’abaana ba Isirayiri bonna, bwe batyo banaasonyiyibwanga, n’abagwira abanaabeeranga mu bo nabo banaasonyiyibwanga, kubanga abantu bonna banaabanga basoberezza wamu nga tebagenderedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri banaasonyiyibwanga, n'omugenyi atuula mu bo; kubanga kyakolebwa abantu bonna nga tebagenderedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli n'abagwira ababeera mu bo, kinaasonyiyibwanga, kubanga bonna banaabanga bakoze ensobi eyo nga si ŋŋenderere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri banaasonyiyibwanga, n'omugenyi atuula mu bo; kubanga kyakolebwa nga tebamanyiridde eri abantu bonna.