Numbers 15:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Oba omuntu omu yekka y'aliba akoze ekibi mu butanwa, oyo aweerezanga embuzi enduusi ey'omwaka ogumu olw'ekibi kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye omuntu bw’anaasobyanga ng’ali bw’omu mu butagenderera, anaaleetanga embuzi enduusi ey’omwaka gumu ogw’obukulu nga kye kiweebwayo olw’ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuntu bw'anaayonoonanga nga tagenderedde, anaawangayo embuzi enduusi ewezezza omwaka okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu bw'anaakolanga ekibi nga tagenderedde, anaawangayo embuzi enduusi ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu bw'anaayonoonanga nga tamanyiridde, kale anaawangayo embuzi enduusi etennamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo olw'ekibi.