Numbers 15:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona aliddaabiriza ew'Omukama olw'omuntu oyo eyagwa mu nsobi mu butanwa, ng'okuddaabiriza kuwedde, alisonyiyibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaatangiririranga, eri Mukama, omuntu oyo asobezza mu butagenderera; bw’anaamalanga okutangiririrwa, anaasonyiyibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabona anaatangiriranga mu maaso ga Mukama, omuntu asobezza nga tagenderedde; era anaasonyiyibwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu oyo akoze ekibi nga tagenderedde, kabona anaamusabiranga ekisonyiwo gye ndi Nze Mukama, n'asonyiyibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabona anaatangiriranga obulamu obusobya, bw'anaayonoonanga nga tamanyiridde, mu maaso ga Mukama, okumutangirira; kale anaasonyiyibwanga.