Numbers 15:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Etteeka likwata bombi, omuzaaliranwa Omuyisirayeli n'omugwira, bwe baba bayonoonye mu butanwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaabeeranga n’etteeka lye limu erinaakozesebwanga ku muntu yenna anaasobyanga nga tagenderedde, bw’anaabanga enzaalwa oba ne bw’anaabanga omugwira bulijjo abeera mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munaabanga n'etteeka limu eri enzaalwa n'eri omugenyi atuula mu mmwe, anaakolanga ekikolwa kyonna nga tagenderedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaabeeranga n'amateeka ge gamu agafuga buli akola ekibi nga tagenderedde, k'abe omuzaaliranwa Omuyisirayeli, oba omugwira abeera mu Bayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munaabanga n'etteeka limu eri oyo anaakolanga ekikolwa kyonna nga tamanyiridde, eri enzaalwa mu baana ba Isiraeri, n'eri omugenyi atuula mu bo.