Numbers 15:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bwe muweerezanga Omukama ebitone n'omuliro, okuva mu ggana oba mu kisibo, akawoowo akasanyusa Omukama, ng'ekitambiro ekyokye, oba ng'ekitambiro eky'okutuukiriza obweyamo, oba ng'ekitambiro ekyeyagalire, oba ng'ekitambiro eky'embaga enkulu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne muleetera Mukama Katonda ebiweebwayo ebyokye nga mubiggya mu biraalo byammwe oba mu bisibo byammwe, ekiweebwayo ku muliro oba ssaddaaka enjokye, okutuukiriza obweyamo bwammwe oba ebiweebwayo olw’okweyagalira oba ku mbaga zammwe entongole, ne muvaamu akawoowo akasanyusa Mukama;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era bwe munaawangayo ekiweebwayo eri Mukama, ku nte oba ku ndiga; ekiweebwayo n'omuliro, n'ekiweebwayo ekyokebwa, oba ssaddaaka okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo mu kweyagalira oba okuwaayo ku mbaga zammwe ezaalagirwa okuba evvumbe eddungi eri Mukama;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne mwagala okutoola ku nte, ne ku ndiga ne mbuzi zammwe, okuntonera Nze Mukama ekiweebwayo ekyokebwa oba ekitambiro, okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo mu kweyagalira, oba ku nnaku zammwe enkulu ezaateekebwawo, akawoowo k'ebyokulya ebyo, kansanyusa Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nga mwagadde okuwaayo ekiweebwayo n'omuliro eri Mukama, ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka, okutuukiriza obweyamo, oba okuba kye muwaayo ku bwammwe, oba ku mbaga zammwe ezaalagirwa, okunyookereza Mukama evvumbe eddungi, ku nte oba ku ndiga: