Numbers 15:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Naye omuntu aliba ayonoonye ng'agenderedde, abeere munnansi oba mugwira, abeera avumye Katonda; omuntu oyo wa kukutulwanga ku bantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye buli muntu anaakolanga ekibi mu bugenderevu, bw’anaabanga enzaalwa ne bw’anaabeeranga omugwira abeera mu mmwe, omuntu oyo anaabanga avvodde Mukama Katonda, noolwekyo anaagobwanga mu bantu be, ne bamwesalirako ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye omuntu anaakolanga ekikolwa kyonna n'ekyejo, oba nga nzaalwa oba nga mugenyi, oyo ng'avvodde Mukama; omuntu oyo anattibwanga,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye buli anaakolanga ekibi ng'agenderedde, k'abe omuzaaliranwa oba omugwira, oyo anaabanga anyoomodde Mukama, era anaaboolebwanga mu bantu be,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye obulamu obunaakolanga ekikolwa kyonna n'ekyejo, oba nga nzaalwa oba nga mugenyi, oyo ng'avvodde Mukama; n'obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be.