Numbers 15:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga yagaya ekigambo ky'Omukama, n'amenya ebiragiro bye, ky'anaavanga akutulwako; omuntu oyo anaabanga n'omusango.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwokubanga anaabanga anyoomye ekigambo kya Mukama Katonda, n’amenya etteeka lye, omuntu oyo anaagoberwanga ddala okuva mu bantu be, ne bamwesalirako ddala, era ekibi kye ekyo kinaasigalanga ku mutwe gwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga anyoomye ekigambo kya Mukama era ng'amenye ekiragiro kye; omuntu oyo anattibwanga; obutali butuukirivu bwe bunaabanga ku ye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga anaabanga anyoomye ekigambo kyange Nze Mukama, era ng'amenye ekiragiro kyange, ne yeesingisa yekka omusango, n'aboolebwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga anyoomye ekigambo kya Mukama era ng'amenye ekiragiro kye; obulamu obwo bunaazikiririzibwanga ddala, obutali butuukirivu bwe bunaabanga ku ye.