Numbers 15:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwatuuka, Abayisirayeli baali bali mu ddungu, ne basanga omuntu atyaba enku ku lunaku olwa Sabbaato.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basisinkana omusajja omu ku b’omu kibiina ky’Abayisirayiri eyali atyaba enku ku lunaku lwa Ssabbiiti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Isiraeri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basanga omuntu ng'atyaba enku ku lunaku lwa Ssabbiiti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali lumu Abayisirayeli nga bakyali mu ddungu, ne wabaawo omuntu eyasangibwa ng'alonderera obuku ku lunaku lwa Sabbaato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Isiraeri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basanga omuntu ng'alondera enku ku lunaku lwa ssabbiiti.