Numbers 15:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Mu mazadde gammwe gonna ku mikugiro gy'ebyambalo byamwe mutungirangako obututtwa, nga buli katuttwa mukatungira ku mukugiro n'ewuzi eza kakobe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yogera eri abaana ba Isirayiri obalagire beekolere amatanvuuwa bagatungenga ku nkugiro z’ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era ku buli ttanvuuwa batungengako akaguwa aka bbululu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Yogera n'abaana ba Isiraeri obalagire okwekolera ebijwenge ku nkugiro z'ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era bateekeko omuguwa ogwa bbulu ku bijwenge ebiri ku buli lukugiro;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ayogere n'Abayisirayeli, abalagire nti: “Mutungenga bulijjo ebijwenge ku mikugiro gy'ebyambalo byammwe, era ku bijwenge ebiri ku buli mukugiro, muteekengako akawuzi aka bbululu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogera n'abaana ba Isiraeri obalagire okwekolera amatanvuwa ku nkugiro z'ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era bateeke omugwa ogwa kaniki ku matanvuwa agali ku buli lukugiro: