Numbers 15:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe munaatunulanga ku bututtwa bunaabajjukizanga ebiragiro by'Omukama byonna, ne mubikwatanga muleme kukola bwamalaaya nga mugoberera amaddu g'emitima gyammwe n'amaaso gammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amatanvuuwa ago munaagatunulangako, ekyo ne kibajjukiza amateeka ga Mukama Katonda gonna ge musaanira okugonderanga, mulyoke mugagobererenga mulemenga okweyonoonyesa nga mukola ebyo ebitaliimu nsa byokka nga bye bisanyusa amaaso gammwe n’emitima gyammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli lwe munaalabanga ebijwenge ebyo, binaababeereranga akabonero okubajjukiza ebiragiro byonna ebya Mukama. Mu bikwatenga; muleme okunvaako nga mukola ng'okwegomba kw'emitima gyammwe n'amaaso gammwe bwe kuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebijwenge ebyo bibabeererenga akabonero akabajjukiza: buli lwe munaabirabanga, mujjukirenga ebiragiro byange byonna, mutuukirizenga kye biragira, mulemenga okunvaako okugoberera ebyo emitima gyammwe n'amaaso gammwe bye bibaleetera okwegomba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ganaabanga gye muli amatanvuuwa, mugalabenga mujjukire ebiragiro byonna ebya Mukama, mubikolenga; muleme okutambulatambula okugoberera omutima gwammwe mmwe n'amaaso gammwe mmwe, bye muyisa okugoberera okwenda nabyo: